Kimenke Freestyle

Kimenke Freestyle
  • Version
  • Download 21
  • File Size 20 MB
  • Create Date May 21, 2022

Kimenke Freestyle Lyrics

Rub-a-Dub Dub Dub style kugooma.
Vvaayo mu kkubo nzize, sikukoona.
Bwenyi ku bwenyi, ensiyo efunze lwa nnyanda.
Nkunyiga ensi eraba nze Ibrahim Nganda.
Mic ngikutte sigita nga ssanda.
Beat bw’enyuma nkoleera mangu nga ssanja.
Ekibuuzo tewali, naye kati - nze ansa. (answer)
Bino ebigambo byandiba biwonya kkansa.
Rapper ate totya obiteekemu n’essaala.
Ayi Mungu, singa Ssebo Lule teyajja.
Tokankana nga kkansala alwana n’Oluzungu.
Mmanyi muyoya kwesala obugirita mbuleese.
Londako Walumbe oba okugobwa nze.
Mubikkule emitwe mbasibirire entanda.
Sifaayo ku nnamba nkusikayo mu bbanga.
Nnesimbye nga bbanda, nkaluba - si kukanga.
Kasajja katono okanyoomera mitala baaba.
Ofaananyemu Big Eye awo nga okaaba.
Bye bye mweraba mwenna abatalina waaka.
Wampa ssebo - olwo engule mba ngitwala.
Muli nnyoongeza ku kijjulo nga kedo.
Ssebo Lule akakkanya ebiwundu nze Ppamba.
Enduulu nnungi naye zijje n’ejjamba.
Akya-kya-kya laba mbakoonye track.
Akya-kya-kya laba mbakoonye track.
Abanaafa - obugombe amatu gabugaana.
Mpiseemu butereevu sirinze munnonde.
Mic ne bw’eba emu nsirisa mpaabaana.
Mujja luvannyuma nga vvu mu sigiri.
Enjawulo erabika - nviiri zirimu nnazi.
Tokanyuga tawulo leka, leka - tuttunke.
Ntaamye ntaamye ntaamye ndi kimenke.
Ntaamye ntaamye ntaamye ndi kimenke.
Kino si kigwo-ggumbya nti kwesiiga ntuuyo.
Amaanyi tegalya nga mbwa ku ggumba.
Bava bunaayira banoonya nga mmumbwa.
Emba bwe zikubagana, mpanga ebigambo.
Bino bya kunyumirwa tozimba akasajja.
Mbalabisaamu katono nga zzipu gy’otaasibye.
Buli omu akole gigye, ttoofali nga Mayiga.
Erinnya linkulembere - mbalambuze mu “My-Car”.
Bangi twasoma, naye batono nnyo abaayiga.
Ye nze Kaggwa kye yalayira nti kiribwattuka.
Liggwa mu ngalo wakiri nkulwaza entunuka.
N’ebirwadde by’otonnakebeza ne bittuka.
Kino kibadde tekirabikangako ku dduniya.
Nkuwa ekyo ky’osuubira siringa Jumiya.
Bannanjulira abammanyi nga nkiwunzise.
Mmira mmira mmira sigaaya nga Ssewankoko .
Mic muzisembeze nkisuulewo nga Elwelu.
Siriiko ku menu, tonoonya nga mubeezi.
Bbeeyi nnene - luno lugendo lwa ku mwezi.
Tonnesimbako nga bbango funa w’otuula.
Basaabala bwa bbumba obwato abannumba.
Wuuuu! Bawekeera nga bayeekera.
Ntaamye ntaamye ntaamye ndi kimenke.
Ntaamye ntaamye ntaamye ndi kimenke.
Bbendera ngiwanise gano amatwale gange.
Akyalimu akakunkuna ssiba empale zinywere.
Omugwa kozesa gwegumu ogusiba embuzi.
Eno nkuba mpya - nga Mutale mu 2001.
Nze mazima agatekweka nze kinkumu.
Tebiggwayo gye biva omumwa mudumu.
Hmmm…hmmm….fukumula tonanagiira.
Toyinza kunkuba bbusu nyweeza nga ggoonya.
Mbuuze MTN kye ndya nga tekimanyi?
Obudde buzibirawo - akasana kagenze.
Bar ndeeta MO-MO kati muntende.
Okomye ku sseŋŋenge eno munda totuuka.
Ate bw’obuuka ogwa ku jjembe - ery’ente.
Ndi wa kabenje ne bw’onsanga ku museetwe.
Bw’ompeeka ssente nkusindika Dubai.
Sirinda kukwetoolozza jjiiko mu ccaayi.
Kyani? Kya ba rapper. Kyani? Kya Ssebo Lule.
Mic ngikutte mboggole mudduke.
Sikoowa – w’okomye nze mba nga atandika.
Mpandika ng’alimu UMEME mu mutwe.
Siri kangabaana nti mbyogera mutye.
Ndya abantabaala n’abatava waka.
Kiri kawa ab’empaka batomera biswa.
Mugezesa nnyo. Olindaki- okukomba ku butwa?
Bbomba ze zibapika mmanyi teriiyo kirala.
Ne bwe nsika aerial bye mwogera sibifuna.
Sibijuwa. Muli baakabi? Ekyo sikiwa.
Ku luno wabula mmimbye nga kyovu kya beer.
Wennaviira ku party nga mumpita dear.
Nkifudde kyangu naye tokoppa oggya kweruma.
Piibii - oluggi lweggula kati ku zzaabu kw’olaba.
Bw’oyita Uganda ekkula nze gw’olaga.
Ku mmaapu – sibula, nnyanja oba omugga.
Mbalagala, nsiiwa, nga munnyo mu bbwa.
Ntaamye ntaamye ntaamye ndi kimenke
Ntaamye ntaamye ntaamye ndi kimenke.
Waaka mungi kati mutadde mu mugugu.
Mugu, songa, mpambe ensi nga Booda.
Ayi bambe! Nkubye beat nga ali ku nkolya.
Ayeh! Bbunga Soya olumu gy’onsanga.
Linda nnina kye mpanga ndi wano nswamye.
Ensi ya mbwa nnyo, nnagiwaki yecange?
Okunnuma enteega ng’ate Ssebo waabwe
Njaagaliza efune ebirungi okutali kkomo.
Waggulu lule wansi mazzi nga Omo.
Bw’oba mugezi okimanya nti nze nkuba.
Nnakedde mu makya noonya erinnya nnetuume.
Nnewadde Ssemuseesa Kazuukusamarap.
Ndi mu laavu n’ebigambo - gwambugaana.
Engeri gye bituula ku mpapula enkuba.
Ye maanyiki ago okuleeta amaziga?
Kipya ki? Nkugambirawo nti okole research.
Gy’olizuulira amakulu ga ddoole y’omwana.
Ensi ky’emmanja kiri kimu bigambo.
Kkiri-kkiri akannyonyi kakeera ku lwange
Ne kambuka mu bbanga kankwatire ekifo.
Bw’obama okakwate osigaza byoya bya nswa.
Nze nga nnasuddeyo dda, mu nkola endala.
Ku mikutu tonfuna? Ndi mu studio nkola.
Ngolola zi bar zikole nga emitayimbwa
Eby’okuyimba byannema nnabirekera Soul’O.
Nze ndi wa bitontome ebiruma ng’engolo.
Byandiwaliriza abafuzi okudda mu nsiko.
Balwanyise eddobozi, emimwa gyesooze.
Kumbe nnesozze dda wansi w’akateebe.
Okuteeba gyendi osooka kwesekerera.
Amannyo ne gavaamu n’osigaza lubungu.
Mbatutte wa eno? Tutubidde mu biboozi.
Simanyi oba bya bulimba tombuuza bibuuzo.
Nja kusongoza omumwa nsinge ku kalooli.
Y’eno freestyle eggye abantu mu kamooli.
Ewoomye, ewoomye, n’amaziga ne gajja.
Gajjuzza omugga - essanyu ly’okuva mu muggalo.
Tokikola, tokikola, eky’okunseera engalo.
Ziyinza okuvaako ne zigwa eri nga obulira.
Tuula, kkalira, wulira bino bye ntontoma.
Ttotoma nti bikuyiseeko nga kibonnomu.
Kibi nnyo sibiddamu lindirira ebiddako.
Nkulukuta ate onsiba ng’owoza ebya ppado.
Kirabo Kado naye nze siri wa mu nsawo.
Onteeka ku mutwe ensi yonna n’endaba
Ndi kiyiiye kizito - emikono okwasa ebiri .
Bwe ndifa kirabika ndikomerawo mu muti.
Mumbajjemu embaawo, ate ebikoola
Muyenge, mufumbe, bibawonye emitwe.
Ono ssayansi asukkawo ku w’olubaawo.
Atali mukodo y’oyo akwata mu nsawo.
N’anfuwa kibuyaga - anti anyumiddwa.
Gye ndaga sipiidi, antutte kimyanso.
Ggwe angoba, oliisa bijanjaalo mpiso.
Kamu kamu gwe muganda naye ssebo,
Olivaayo ddi? Dingi-dingi-doole.
Kuba kati ndaba oli mu bya kito.
Kwata ttooci yiino omulise ekkubo.
Buzibye obubwo nga Kiro tannatuuka.
Muntu-kyuma gw’oguddeko bro.
Eyakutumye obulo kazaalabulwa.
Kyandisinze n’akutunga omumwa.
Bw’ogezaako obiwande nga nze.
Wekangira eyo ng’okyuse oluba.
Kkamera zivuddeyo zikutte amasu.
Kamese ku kamasu kalyonso mmiro.
W’ondabira koleeza mbiro mbiro.
Eŋŋombo nti oyo mulabe dduka.
Ndi kadduuka katono sinnavaayo.
Wabula buli kalonda ali muno.
Olonze ekyapa ekiri mu mannya go.
Ensi yaleeta, bwe watega matu.
N’ofuna omutontomi Lule ow’eŋŋonge.
Woowe! Kiki kino ate ekiguddewo?
Lugaflow oligino (original) mpaawo ataalye.
Munfunire beat ennungi nga Jazmine.
Munsibire omwo mwe siyinza kutoloka.
Emmeme yange eteredde ndi mu laavu.
Mutwe gwo gwe mwavu nze nnajja kuyiiya.
Kansuubire nti olina ky’oyize.
Kansuubire nti olina ky’oyize.
Kubanga Ssebo kati asuddeyo.
Kubanga Ssebo kati ataddeyo.